Psaumes 82

Dieu juge au milieu des juges

Zabbuli ya Asafu. Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu, ng’alamula bakatonda. 2Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa, nga musalira abanafu? 3Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.

4Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi. 5Tebalina kye bamanyi, era tebategeera. Batambulira mu kizikiza; emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa. 6Njogedde nti, Muli bakatonda, era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.

7“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu; muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.” 8Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi; kubanga amawanga gonna gago.

Copié !
Aa