Псалтирь 133

Как хорошо жить братьям вместе

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye. 2Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni ne gakulukutira mu kirevu; gakulukutira mu kirevu kya Alooni, ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye. 3Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni, ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa n’obulamu emirembe gyonna.

Скопировано!
Aa