시편 127

여호와께서 집을 세우지 아니하시면

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani. Mukama bw’atazimba nnyumba, abo abagizimba bazimbira bwereere. Mukama bw’atakuuma kibuga, abakuumi bateganira bwereere. 2Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola, ate n’olwawo n’okwebaka ng’okolerera ekyokulya; kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo. 3Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama; era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.

4Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi, n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo. 5Alina omukisa omuntu oyo ajjuzza ensawo ye n’obusaale, kubanga tebaliswazibwa; balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

복사됨!
Aa