시편 121

나의 도움은 여호와에게서로다

Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa? 2Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi. 3Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga.

4Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga. 5Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo; 6emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro.

7Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo. 8Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

복사됨!
Aa