시편 114

이스라엘이 애굽에서 나올 때에

Isirayiri bwe yava mu Misiri, abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe; 2Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda, Isirayiri n’afuuka amatwale ge. 3Ennyanja bwe yabalaba n’edduka; Omugga Yoludaani ne gudda emabega.

4Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume, n’obusozi obutono ng’obuliga obuto. 5Ggwe ennyanja, lwaki wadduka? Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega? 6Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume, nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

7Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama, mu maaso ga Katonda wa Yakobo, 8eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi, n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.

복사됨!
Aa